1 Tulindirire - Tulindirire-okujja-kwa Yesu-Omulokozi
Tulongooseze - Tulongoseze-Omwana-wa-Mukama oluguudo lwe
Ajje Yesu - Ajje Yesu atulokole
Liriba ssanyu,Yesu ng'atuuse,bw'atyo
N'atununula mu nsi eno ey'ekikolimo(Ky'okufa)
Lw'alizaalibwa Omwana,okuva mu ggulu gy'ali
Y'oyo ye yekka alitununula,tumukkirize
Y'oyo ye yekka alitununula,tumukkirize.
2 Twali mu kabi - Twali mu kabi bw'atyo-Mukama-n'atusaasira
Naatuukiriza - Naatukiriza-ebya-Nabbi Isaya bye yalagula
Nti oli alijja - Nti oli alijja ye Mulokozi
Liriba ssanyu,Yesu ng'atuuse,bw'atyo
N'atununula mu nsi eno ey'ekikolimo(Ky'okufa)
Lw'alizaalibwa Omwana,okuva mu ggulu gy'ali
Y'oyo ye yekka alitununula,tumukkirize
Y'oyo ye yekka alitununula,tumukkirize.
3 Lulikya lutya - Lulikya lutya ne-tumulaba-nga tuli naye
Tulijaguza - Tulijaguza -awali Mukama nga tuwangudde
Fenna ku olwo - Nti oli alijja ye Mulokozi.
Liriba ssanyu,Yesu ng'atuuse,bw'atyo
N'atununula mu nsi eno ey'ekikolimo(Ky'okufa)
Lw'alizaalibwa Omwana,okuva mu ggulu gy'ali
Y'oyo ye yekka alitununula,tumukkirize
Y'oyo ye yekka alitununula,tumukkirize.
4 Lw'alikomawo - Lw'alikomawo aliba-mu-ntebbe y'Obulokozi
Tulitwalibwa - Tulitwalibwa awali-Kitaffe gye yategeka
Eri gy'ali - Eri gy'ali mu-Kitiibwa