Return to Index

405

406

WAALIWO edda omuwala

407
SongInstrumental
	

1 WAALIWO edda omuwala Mu Beserekemu Yuda Empisa ze zaali nnungi Era yali muwombeefu. Nze ndi muzaana wa Mukama Kibe ku nze nga bw'ogambye 2 Malayika n'ajja gy'ali Mirembe gwe-aweereddwa-Omukisa Olibeera olubuto Olizaala-Omulokozi. Nze ndi muzaana wa Mukama Kibe ku nze nga bw'ogambye 3 Ekyo kirimbaako kitya? Kuba simanyi musajja? Malayika n'amuddamu: Omwoyo alikujjira Nze ndi muzaana wa Mukama Kibe ku nze nga bw'ogambye 4 Teyagaana,teyalimba Yaddamu kimu ekituufu Bw'ati ye n'obuwombeefu. Kibe Kityo nga bw'ogambye. Nze ndi muzaana wa Mukama Kibe ku nze nga bw'ogambye 5 Mukama akyama amalala Newankubadd'empisa embi, Abawombeefu mu mwoyo, Katonda ye abakkiriza. Nze ndi muzaana wa Mukama Kibe ku nze nga bw'ogambye