Return to Index

106

107

ABATUKUVU ba Katonda

108
SongInstrumental
	

1 -ABATUKUVU ba Katonda Entalo zaabwe zaggwaawo, Tebakyetaaga mafumu, Tebakyewoma mu ngabo. Baweereddwa-omukisa bo, Bajjudde-essanyu lya Yesu. 2 -Abatukuvu ba Katonda Batuuka mu kiwumulo, Tebeesittala kaakano So tebazirika nate. Baweereddwa-omukisa bo, Balaba-amaaso ga Yesu. 3 -Abatukuvu ba Katonda Edda baafuba n'amaanyi; Mu nnyanja y'ennaku zaabwe, -Amayengo nga gabakuba. Baweereddwa-omukisa bo, Bagobye mu mwalo gwabwe. 4 -Abatukuvu ba Katonda -Emibiri gyabwe givunda, Bw'aliijja balizuukira, Ne basanyusibwa Yesu. Baweereddwa omukisa-bo, Kabaka waabwe-ajja mangu. 5 Katonda w'abatukuvu Yesu, -Omulokozi waffe Omwoyo eyatukuuma, Katonda-omu mu Busatu; Otuwe-abakukkiriza, -Otutuuka mu mirembe gyo