Return to Index

105

106

OLWA leero mbaga: Olunaku luno

107
SongInstrumental
	

1 OLWA leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga. 2 Leero-Omutonzi w'eggulu,olunaku n'ennyanja byonna, Yatandika-omulimu gwe,olw'amagezi ge. Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga. 3 Leero Mukama yazikiriza okufa mu kufa kwe, Bw'atyo n'alyoka atuwa-essanyu n'essuubi lingi. Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga. 4 Leero Katonda yajjuza-abatume amaanyi g'Omwoyo Okuyigirizanga era n'okulunggamyanga. Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga. 5 Leero mwenna abakkiriza mu nsi yonna mumutende Omununuzi wammwe namaloboozi gonna. Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga. 6 Leero abali ewala mu nzikiza balitegeera Ekitiibwa kye-ekingi n'obutuukirivu bwe. Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga. 7 Tukusaba, bulijjo-obeerenga mu myoyo gy'abantu bo, Ggwe Mulokozi Yesu,era Mukama waffe. Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu! Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.