Return to Index

104

105

OMWOYO-Omutukuvu

106
SongInstrumental
	

1 -OMWOYO-Omutukuvu Oyingire mu ffe; Emitima gyaffe Gijjule-okwagala; Mubeezi waffe yakira Mu bulamu bwaffe bwonna. 2 -Omwoyo-Omutukuvu -Otumalemu mu ffe Okwegomba kwonna Okutasaanira; -Omusana-ogwakaayakana Omulise-emyoyo gyaffe. 3 -Omwoyo-Omutukuvu Tuwe-Okwagalana; Tutuukirizenga Etteeka lya Yesu: Twesibenga-obuwombeefu Tunakuwalire-ebibi. 4 -Omwoyo-Omutukuvu Otusobozese Okutuukiriza Yesu by'ayagala; Tuyaayaanire Katonda, Bye yategekera fenna.