Return to Index

103

104

JJANGU Mwoyo wa Yesu

105
SongInstrumental
	

1 JJANGU Mwoyo wa Yesu, Mu nzikiza otuwe Omusana gw'obulamu- Sembera, Musanyusa, Tuula mu myoyo gyaffe, Otufugire ddala. 2 Ggwe Kiwummulo kyaffe, Mu byonna bye tukola Otuwummuze gy'oli Otumalemu-ebibi, Merusa mu ffe-ekisa, Tulyoke tukwagale. 3 Longoosa-ebyonoonese Wonya-ebiwundu byaffe, Tonnyesa-emikisa gyo. Emyoyo gy'abajeemu, Era-abalina-ebibi Ogikyusize ddala. 4 Abeesigira ddala Obuyinza bwo bwonna Bulijjo-obakuumenga Mu nsi-otwe-ekisa kyo, Era ku lw'amaanyi go, Otutuuse mu ggulu.