Return to Index

108

109

KATONDA yagaba eggye

110
SongInstrumental
	

1 KATONDA yagaba eggye -Okulwana n'ebibi; -Omugabe we ye mwana we: Musajja we y'ani? 2 Akwata-omusaalaba gwe Ayita ne Yesu, Ass'ekimu n'ennaku ze, Musajja we y'oyo. 3 Ng'oli gwe baakuba edda Ku lwa Mukama we, Bwe yali ng'abasabira Baali balabe be, 4 Baamutta ng'afukamidde Ye ng'alaba Ye su. Bwe yali ng'ayimiridde -Okumulwanirira. 5 Eggye-eddungi ery'ettendo. Ery'abajulirwa; Abaafiira mu muliro Era ne ku miti. 6 Mu bunnya bw'empologoma Bangi baasuulibwa; Era baabatta n'empiima, Naye ne baguma 7 Eggye-eddungi ery'abantu -Abakulu n'abato Beeyanza Yesu n'essanyu Leero ne bulijjo. 8 Mukama waffe, tusaba Otuwe-ekisa kyo; Ennaku bwe tuziraba, Twesige-amaanyi go