Return to Index

109

110

ERINNYA lyo Yesu lyebazibwe

111
SongInstrumental
	

1 ERINNYA lyo Yesu lyebazibwe, Olw'abatukuvu abeebaka, Nga baatula-erinnya lyo-ettukuvu; Aleruuya,Aleruuya! 2 Gwe wali lwazi lwabwe-oluwanvu, Omugabe mu lutalo lwabwe, Ggwe wabamulisa mu nzikiza Aleruuya,Aleruuya! 3 Naffe-abaserikale bo leero, Tweragenga-amasajja nga bali; Naffe tutikkirwe engule eri Aleruuya,Aleruuya! 4 Fenna tussekimu wamu nabo Ffe-abakyalwana ne be watwala -Okubeera naawe mu kitiibwa kyo Aleruuya,Aleruuya! 5 Era oluusi bwe tukoowa-ennyo Tuguma-omwoyo nga tuwulira -Oluvimba lwabwe olw'olujaguza. Aleruuya, Aleruuya! 6 Obudde bunaatera-oktuuka, Ne tuwummulira wamu nabo Mu nnimiro z'okwesiima ziri. Aleruuya,Aleruuya! 7 Laba! ate obudde bwe bukya Abatukuvu ne bazuukira Kabaka-ow'ekitiibwa ng'atuuse. Aleruuya,Aleruuya! 8 Bava mu nkuzi zonna ez'ensi, Nga bayimba okutendereza Katonda oli-omu mu Busatu Aleruuya,Aleruuya!