1 KA tutambulenga nabo
Abanoonya erinnya lyo,
Era n'abatukuvu bo
Emirembe n'emirembe.
2 Laba-eggye ly'abatukuvu
Wamu n'abo tusanyuke;
Era bwe mba nga nzirise
Linzizaamu nnyo amaanyi
3 Tetubalaba kaakano
Baamala okuwunguka;
Naffe tuli mu lugendo
Tulibeera wamu nabo
4 Fenna awamu tuli mu ggwe,
Tetubalaba n'amaaso,
Naye olw'okukkiriza
Tuli mu kisibo kimu.
5 Mu maaso go ffe awamu,
Bulijjo tutendereza;
Mu mwoyo tulabagana,
Ne twebaza ekisa kyo.
6 Eggye lyonna-ery'omu ggulu
Abo be ndibeera nabo;
Era naawe Omwagalwa,
Ani alitwawukanya?