Return to Index

111

112

AYI Kitaffe atwagala

113
SongInstrumental
	

1 AYI Kitaffe atwagala, Tuwaayo gy'oli-omwana-ono Ayingire mu kisibo Anywezebwe mu kwagala. 2 Omwana wo omwagalwa Teyagoba baaba bato; Ne kaakano tumuwaayo Omunyweze mu mikono gyo. 3 Mu biro eby'okukemebwa Muwenga obuwanguzi, Ayolese-ekitiibwa kyo; Bonna bakutendereze. 4 Era ne ku nkomerero Bw'olijja mu kitiibwa kyo, Asanyuke okuweebwa Engule gye wasuubiza