Return to Index

137

138

AYI Katonda bwe ndowooza

139
SongInstrumental
	

1 AYI Katonda bwe ndowooza Ku bingi bye wampa, -Emmeeme yange ne yeewuunya, Era n'ekutenda. 2 Ne bwe nali nkyatondebwa, Essanyu lyo-eringi Walissa mu mwoyo gwange, Ng'olimpa nze buwa. 3 -Omokono gwo gunnywezenga Nga bwe nkyali-omuto, Mpite mu buzibu bwonna, Ntuuke mu bukulu. 4 Obulamu bwange mu nsi Leero mbukwasa ggwe, Era nga mmaze okufa Ntuule-eyo mu ggulu. 5 Ggwe,Ayi ow'olubeerera, Bwe ntyo nkuyimbira; Kuba-ekitiibwa kyo kingi Ekitatendeka