Return to Index

138

139

BAMALAYIKA bayimba

140
SongInstrumental
	

1 BAMALAYIKA bayimba Batendereza Nga bakuba ennanga zaabwe, Tebawummula; Eggye lyonna-ery'omu ggulu Bayimbira Katonda. 2 Batendereza Mukama Eyo mu ggulu Abatuukirivu bonna Abaawangula Eyo bonna banaazibwa Bonna batuukirivu. 3 Singa-abantu tumwagala Eyatutonda Tetwandyeyonoonye nebyo Ebitagasa Ka tubirekere ddala Anti -ebyo bya Ssetaani! 4 Mu bifo-ebyo by'omu ggulu Gye tulibeera Nga tumutendereza-oyo Eyatwagala; Nga fenna tumuyimbira N'essanyu eringi-ennyo. 5 Oweebwe nnyo ekitiibwa Ayi ggwe Kitaffe; Naawe-Omwana,naawe-Omwoyo Omutukuvu; Obusatu -Obutukuvu Otenderezebwenga.