Return to Index

139

140

EBINTU-ebirungi n'bintu-ebikulu

141
SongInstrumental
	

1 -EBINTU-ebirungi n'bintu-ebikulu Eby'amagezi,n'ebituukirivu; -Ebintu ebinene n'ebintu-ebitono Byonna byakolerwa ddala Katonda. 2 Nate-ebigambo ebiri mu kyama, Bye tulowooza-era ne bye twogera Bwe tubikisa mu mwoyo-abimanyi Ebyo-ebikweke,byonna abiraba. 3 -Abantu ba wano n'abantu b'ewala, -Abantu abasiru n'abantu-abagezi; -Abaana ba Adanu bonna-abalamu, Bonna bakuumibwa Yesu Mukama. 4 -Abantu-abgaga n'abantu abanaku, -Abantu ba wano n'abava-e Bulaaya; -Abaana b'abaddu n'abaana b'Abaami Bonna benkana mu maaso ga Yesu. 5 Mu nsi tewali na mwana wa muntu, Atayagalwa Katonda-Omuyinza; Bonna abalina-omwoyo-omuwombeefu, Ogumuwulira,abakkiriza. 6 Kale,tweyanze Katonda-ow'ekisa; Ffe abanaku twakyama twabula: Tumweyanze,alokolera ddala Bonna-abakkiriza Yesu Mukama.