Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 EGGULU likusinza
Mukama,Mutonzi!
Ebbanga likusuuta
N'ebirimu byonna.
Tebikoowa kutenda
-Emisana n'ekiro
-Amagezi go,n'amaanyi
-Ekitiibwa n'ekisa.
2 Enjuba-ey'ekitiibwa,
Etenda-amaanyi go;
Omwezi n'emmunyeenye
Bisinza-erinnya lyo;
Bibuulira-amawanga
Agatannalaba,
Bulungi bwa Mukama
Bibuulira-amawanga
Agatannalaba,
Bulungi bwa Mukama
Eyatonda byonna.
3 Kigambo kya mazima
Kye watuweereza,
Ktukuvu,kirungi,
Kisanyusa ddala.
-Amateeka ge watuwa
Malungi,ga kisa;
Gagaggawaza-abaavu,
Galeeta-amagezi.
4 Tewali n'omu-ayinza
Kwekuumira ddala,
N'okutuusa-amateeka,
N'obutayonoona.
Katonda,ombeerenga!
Nneme-okwerabira,
N'okukunakuwaza
Nga nkyamu bulijjo.
5 Eggye er'omu ggulu
-Ebitonde-eby'omu nsi,
Byonna bitendereza
Erinnya lyo-eddungi:
Nange Mukama wange
Ka neeweeyo gy'oli;
Omwoyo n'omubiri,
Okukuweereza.