Return to Index

141

142

ENKYA bwe nzuukuka

143
SongInstrumental
	

1 ENKYA bwe nzuukuka, Bwe mba ngolokose; Nnasuutanga Katonda Ng'amaaso galaba Enjuba evuddeyo Nnaasuutanga Katonda. 2 Ng'engoma-entukuvu Ez'akawungeezi Bwe ziyita-okusaba, Kyenva njijukira Obulungi bwe bwonna Ne nsuutanga Katonda. 3 Bwe nkola-omulimu Ogundagirirwa, Nnaasuutanga Katonda; Nga ntoowolokoka, Nga nzannya-,oba nga ndya, Nnaasuutanga Katonda. 4 Mmwe-abantu b'omu nsi, Mmwe mwenna, bulijjo Musuutenga Katonda Bw'asaanidde yekka -Okutenderezebwa; Katonda-Ayinza byonna.