Return to Index

144

145

GGWE wekka-ataggwaawo ow'amagezi

146
SongInstrumental
	

1 GGWE wekka-ataggwaawo,ow'amagezi Ggwe-amasamasa-ennyo tetukulaba; Oweebwe-ekitiibwa,ggwe Ayi Katonda; Ggwe Ayinza-byonna tukusinza nnyo. 2 Bulijjo tokoowa,so towummula, -Obuyinza bwo bwokka bufuga byonna: Oli wa mazima,tokyukakyuka, Olw'okwagala kwo tuli ba ddembe. 3 Ggwe-agaba-obulamu mu bintu byonna, Byonna bibeerawo ku lulwo wekka; Tugejja ne twanya ng'omuddo gw'ensi; Mangwago gukala; ggwe tokyukako. 4 Kitaffe-ow'ettendo,Omutukuvu Tuyambe-okulaba ekitiibwa kyo; Bamalayika bo awamu naffe, Tusuute, tusinze, tutndereze.