Return to Index

145

146

KA tumusinze Katonda waffe

147
SongInstrumental
	

1 KA tumusinze,Katonda waffe Tumuyimmbire-eby'okwagala kwe, Akuuma,ayamba,Mukulu wa dda, Ekitiibwa kyonna kimwetooloola. 2 Obuyinza bwe neby'ekisa kye Tubibuulire mu nsangi zonna, Eggulu n'eraddu-era n'omuyaga Byonna be baddu be abaweereza. 3 Wansi w'eggulu,Kabaka waffe, Waateekebwa dda enkuluze yo Y'ensi gye wasimba,n'ogyetoolooza Ennyanja zonna nga ensalo zaayo. 4 Ani ayinza okunnyonnyola Eby'Omugabi waffe by'agaba; Ensozi n'ensenyi,-enkuba n'olume, Empewo, n'omusana bimusuuta. 5 Ffe-abaana-abato banafu ddala Tukwesiga ggwe atatulimba, Eby'ekisa kyo bye by'okwewuunyisa, Ggwe-atonda,ggwe akuuma,ggwe-akwana,Yesu. 6 Ayi ow'amaayi, ow,okwagala; Bamalayika bakutenda nnyo Emigigi egy'abanunule bo Basinza, basuuta,baleeta-eteendo.