Return to Index
151 |
152
WEEBAZE ggwe-emmeeme yange
|
153 |
Song | Instrumental |
|
|
WEEBAZE ggwe-emmeeme yange,
Weebaze mwoyo gwange;
-Olw'ekitiibwa kye ekingi-ennyo,
Leeta-ettndo lyo lyonna;
Aleruuya,Aleruuya!
Weebaze Katonda wo.
Weebaze-ekisa kye kingi
Eri bajjajja-ab'edda.
-Olw'ekisa kye-ekitakoma,
Eyaliwo edda n'edda.
Aleruuya,Aleruuya!
Weebaze Katonda wo.
Ye Kitaffe,atukuuma,
Atuliisa bulijjo
Amanyi-obunafu bwaffe,
Amanyi-obunafu bwaffe,
Atuwonya mu kabi.
Aleruuya,Aleruuya!
Weebaze Katonda wo.
Bamalayika be bonna
Bayimba ettendo lye,
Oyanguwe-ojje n'ebire
Olye-obwakabaka bwo.
Aleruuya,Aleruuya!
Weebaze Katonda wo.