Return to Index
153 |
154
ESSANYU-eringi-eritakomezeka
|
155 |
Song | Instrumental |
|
|
ESSANYU-eringi-eritakomezeka,
Era n'emirembe-egitabuulikika,
Byombi birirabika-eyo mu ggulu
Byateekerwawo abatukuvu bonna.
Mu bwakabaka bwonna-obw'ensi yonna
Teri kitiibwa-ekirifaanana ng'ekyo,
Katonda gy'ali eyatulokola ffe
Abatasaanira bulokozi obwo.
Abatuuka eyo singa bayinza
Okutegeeza-essanyu lyabwe bwe liri
Twandiyanguye-okusseekimu nabo,
Tetwandyesiimye na bigambo by'omu nsi
Yesu-Omugabe w'eggye lya Katonda,
Otusaanyize okuyitibwa kwaffe,
Otutuukirize,otuwe amaanyi,
Ffe-abakweyabiza ggwe Mukama waffe.