Return to Index

154

155

YESU totegeerekeka

156
SongInstrumental
	

YESU,totegeerekeka, Ogulumizibwa, Ekitiibwa ky'amaaso go, Kibuna-ensi zonna. Katonda-ow'olubeerera, -Ow'obuntu bwaffe-era, Bonna bakutendereza, -Emisana n'ekiro. Okukulaba n'amaaso, Kusinga-eby'omu nsi, -Amagezi go n'ekisa kyo, Tebikomezrka. Katonda wange nga nkutya Nga neewombeese nnyo: Era nkusinza n'omwoyo, Nga neetereereka. Amaanyi go n'ekisa kyo, Byombi bya tttendo nnyo: Naye weefeebya-okunsaba Okwagalanga ggwe. Tewali akufaanana, -Okuzibiikiriza, -Obukyamu bwange n'obubi, Ogumiikiriza. Bw'olidda ggwe mu nsi muno -Okusinzibwa bonna Naakwebzanga-ekisa kyo Emirembe gyonna.