Return to Index

188

189

OMUKULU w'Ekkanisa

190
SongInstrumental
	

-OMUKULU w'Ekkanisa Ffe tukutendereza; Nga tonnaba kulabika, Tukulindirire ggwe. Tuyimuse-eddoboozi Ery'okwebaza kwaffe, Tujaguza nga twewaayo Gyoli Katonda waffe. Nga tukyalumwa-ennaku, Omuliro bwe gwaka; Tusanyukira-okwagala Yesu kwe watulaga. Edda twali basibe Mu kkomera-ery'amaanyi Watujjira,n'enjegere Zaakutuka mangwago. Abantu bo bayita Mu migga si mitnde, Egy'okukemebwa, naye Tebatya ng'obatwala; Amaanyi ga Ssetaani, N'ag'ekibi,n'ag'ensi, Galemeddwa,tuwangula, Ku bwa Mukama waffe. tunyooma-eby'ensi byonna, Tunoonya-eby'onu ggulu, Engule etawotoka, Etutegekeddwa-eri. Mu nsi tulaba-ennaku, Naye gyoli mu ggulu, Essanyu lituukirira Mirembe n'emirembe.