Return to Index
187 |
188
BW'ALIJJA Mukama waffe
|
189 |
Song | Instrumental |
|
|
BW'ALIJJA Mukama waffe
Okuyita gy'ali
Abeesigwa be bonna
Abamwagala
Ng'emmunyeenye mu bbanga
Bwe zaaka waggulu
Nabo bwe balibeera
Abaagalwa be.
Alikungaanyiza w'ali
Abaana be bonna;
abanyiikira ennyo
-Okumufaanana.
Mumutende,olw'ekitiibwa ky(e) ekingi,
Mumwebaze n'ennyimb(a) ez'essanyu.
Abakulu-era- n'abato;
Abaagala Yesu
Talibaawulamu ye
Bw'alikomawo.
Mumutende,olw'ekitiibwa ky(e) ekingi,
Mumwebaze n'ennyimb(a) ez'essanyu.