Return to Index

186

187

MUMUTENDE Yesu-Omununuzi waffe

188
SongInstrumental
	

MUMUTENDE Yesu-Omununuzi waffe Ab'omu nsi mwatule-ekisa kye; Mumwebaze bamalayika-abakulu Erinnya lye-eddungi lyebazibwe. Ng'omusumba,anaakuumanga-ababe Alibatwala mu mikono gye. Mumutende,olw'ekitiibwa ky(e) ekingi, Mumwebaze n'ennyimb(a) ez'essanyu. Mumutende Yesu-Omununuzi waffe Yatufiirira-olw'ebibi byaffe, Ye lwe lwazi lwaffe-omuva-obulokozi, Mumwebzae eyakomererwa; Ye yatwala ennaku zaffe zonna, Ye wa maanyi era wa kwagala. Mumutende,olw'ekitiibwa ky(e) ekingi, Mumwebaze n'ennyimb(a) ez'essanyu. Mumutende YEsu-Omununuzi waffe Ab'omu ggulu mumuyimbire; Yesu afuga-emirembe n'emirembe; Nga Kabaka; mumusseeko-engule. Ye alidda okugoba-abalabe, Obuyinza n'ekitiibwa bibye. Mumutende,olw'ekitiibwa ky(e) ekingi, Mumwebaze n'ennyimb(a) ez'essanyu.