Return to Index

194

195

OMWOYO Omutukuvu

196
SongInstrumental
	

OMWOYO Omutukuvu, Omugabi w'obulamu; Jjangu,tukwegayiridde, Jjangu-,okke mu myoyo gyaffe. Tutegeeze ffe bwe tuli, Tunakuwalire-ebibi: Tutegeeze Yesu bw'ali, Tumwebaze-obulokozi. Twewadde mu mikono gyo; Twesiga amagezi go. Tumaleemu-ebibi byaffe; Twewaddeyo-,otulokole. Eddagala bwe likaawa, akmbe ko bwe kasala, Twesiga-,Omusawo waffe; Endwadde yaffe-etuyinze. Kale,omuliro gujje, Gummalemu-amasengere, -Amalala,-ettima,ne byonna Ebitasiimibwa Yesu. Tujjuze-amaanyi n'ekisa, -Emirembe n'okusanyuka N'okwewombeeka,twagale Bannaffe okukira ffe.