Return to Index

193

194

YESU ekisa kyo-ekingi

195
SongInstrumental
	

YESU ekisa kyo-ekingi Kinjiike ku mwoyo, Guleme-okukyama nate Gunywerere ku ggwe. Omuliro gwa Katonda Gwake mu nze leero; Gwokye-amasengere gonna, Guntukuze-omwoyo. Eyakka-edda ku baddu bo, Omwoyo,kka ku nze; Omwana wo nkukoowoola, Ebyonoono-obyokye. Omuliro-ogutukuza, Gunjiike ku mwoyo: Leeta-omnusana n'obulamu, Byake bintukuze. Ne ndyoka nfuna-amaayi go, Obutasirika; -Obugagga bwange,Mukama, -Obulamu bwange-era.