Return to Index

192

193

MUGABI w'ebirabo-ebirungi

194
SongInstrumental
	

MUGABI w'ebirabo-ebirungi, Ebiva-eri Katonda Kitaffe, Otuwe ffe-abeetaaga okwagala; Kye kirabo ekitenkanika. Engabo yaffe kwe kukkiriza, N'effumu kye Kigambo kya Yesu; Ekyo ku kifuba butukuvu, Tunaanika mu bigere-ekisa. Naye-ekirabo kyo tukyetaaga, Ekisinga-ebirala-obulungi, Kwe kwagalana,nga bw'otwaga Yesu,bwe tutyo twagalanenga Okwagala kugumiikiriza, Kulina ekisa so si buggya; Tekunoonya byakwo,tekunyiiga Tekwegulumiza,tekukoowa. Mwoyo-Omutukuvu,otuwenga Okwagala kwa Yesu yennyini Alyoke atubale mu babe, Eby'omu nsi-eno bwe biriggwaawo.