Return to Index

196

197

GGWE-oli Mutukuvu Mukama Katonda;

198
SongInstrumental
	

GGWE-oli Mutukuvu,Mukama Katonda; Enkya tukusuuta,tuyimbaa-ettendo lyo. Ggwe-oli Mutukuvu,wa kisa,wa maanyi; Katonda omu,mu Busatu. Ggwe-oli Mutukuvu,bakusinza bonna, Abali mu ggulu bakuvuunamira; Kkerubi ne Sseraafi bakutendereza, Eyali,aliwo-,alibeerawo. Mutukuvu wekka,tewali mulala; Ffe-ab'omu kizikiza,tetukulaba; Ggwe-oli Mutukuvu,obasinga bonna, -Amaanyi,-amagezi,era n'ekisa. Ggwe-oli Mutukuvu,Mukama Katonda; Byonna bye watonda biraga-ettendo lyo. Ggwe-oli Mutukuvu,wa kisa,wa maanyi, Katonda omu,mu Busatu.