Return to Index

197

198

KA tusuute Kitaffe

199
SongInstrumental
	

KA tusuute Kitaffe, Ka tumugulumize, Eyatonda ffe-abantu N'atuyita-abaana be Ka tusuute n'Omwana, Omulokozi Yesu; Eyafiira ku muti Ku lwa-abalina-ebibi. Ka tusuute bwe tutyo, Omwoyo-Omutukuvu Atukoza-ebyo byonna Ebisiimibwa Yesu. Tusuute mu Busatu, Oyo eyatutonda, N'oyo-eyatununula, N'oyo atutukuza