198 |
199TUKWEBAZA Kitaffe |
200 |
Song | Instrumental |
TUKWEBAZA Kitaffe, N'Omwana,n'Omwoyo! Twebaza-Obusatu, Tusinza ggwe omu! Tuyingire ku ggye lyo -Erya bamalayika -Okukusuuta-obulungi Nga bwe kisaanira. Kitaffe ggwe watuwa Byonna bye tulina. -Obulamu n'amagezi N'essanyu lingi nnyo. Naye-okusinga byonna Watuwa-Omwana wo, Okujja nu nsi muno, Okutulokola. Okwagala kwo Yesu Kwakwetoowazisa; Era kwe kwakufuula Omwana w'omuntu; Kwe kwakuwaliriza -Okugumiikiriza -Okunyoomebwa abantu, Era n'okutiibwa. Era Katonda-Omwoyo Naawe tukusuuta, Eyajja olw'ekisa. Okututukuza. Otuwe,Ayi Katonda, -Amagezi mangi nnyo, Twatule Obusatu, Tusinze ggwe omu.