Return to Index

199

200

NZE nzikiriza ddala

201
SongInstrumental
	

NZE nzikiriza ddala Katonda Obusatu, Ne Yesu-okufuuka-omuntu, Nkyatulira ddala. Neesiga era nsuubira Yesu-eyanfiirira Ebikolwa-ebibi byonna Bife nga bwe yafa. Amaanyi era n'obulamu- Biri gy'ali yekka, Gwe nsinga-okwagala yekka Mutukuvu ddala. Nze ntenda ne Kkanisa yo Ggwe wagitonda-edda; Ne by'eyigiriza byonna, Bye biibyo by'osiima. Ensi zonna zikutende N'eggye-ery'omu ggulu; Bikusuute ggwe Kitaffe, N'Omwana n'Omwoyo.