Return to Index

217

218

YESU bwe nnakusenga

219
SongInstrumental
	

1 YESU,bwe nnakusenga, Ne nsuubiza kino, -Okukugoberenga Obutaddirira. Naye Mukama wange, Beeranga nange ggwe, Nnemenga okwesittala-, Oba kukyamanga. 2 -Abalabe bange bangi, Ba kyejo,ba ttima; Naye ggwe-osinga bonna -Okubeera n'amaanyi, Sijja kuggwaamu mwoyo, Ggwe ononnyinzisanga -Olutalo-olw'entiisa. 3 Bwe mba nga neesittala, Nkwata ku mikono, -Awatali ggwe siireme Kukyamira ddala; Bwe mba nga nafuwadde, Onzizeemu-omwoyo, -Obusungu nga bunkutte, Onkomeko mpola. 4 Naawe,Mukama wange, Wasuubiza kino, Ankwesiga-amazima, -Okumutuusa-ewuwo Kale, nze nnakusenga, Ombeere lwa kisa, Nnemenga-okudda-ennyumba, Mbeerenga mwesigwa.