Return to Index

218

219

YESU ajja! Abalabe

220
SongInstrumental
	

1 YESU ajja! Abalabe Tulibagoba; Yesu Mulokozi waffe, Alitujuna. Yesu agambaMmwe mugume Nze njija mangu: Tumuddemu Tunaalwana, Olw'ekisa kyo. 2 Laba,eggye-erya Ssetaani, Liba lingi nnyo; Naye Yesu ali wamu, Naffe bulijjo. Yesu agambaMmwe mugume Nze njija mangu: Tumuddemu Tunaalwana, Olw'ekisa kyo. 3 Amafamu ga Ssetaani, Kwe kusoomoza: Gonna ganaamenyebwanga, Naye-aligobwa. Yesu agambaMmwe mugume Nze njija mangu: Tumuddemu Tunaalwana, Olw'ekisa kyo. 4 Ebigambo bya Katonda Bitugumya nnyo; Bye biyinza okugoba Abalabe be. Yesu agambaMmwe mugume Nze njija mangu: Tumuddemu Tunaalwana, Olw'ekisa kyo.