Return to Index

219

220

KALE ggye lya Yesu mugolokoke

221
SongInstrumental
	

1 KALE ggye lya Yesu, mugolokoke, Mulabe Mukama akulembedde: Mu balabe bangi Yesu Mugambe; Mukama-atuyita;tugende naye. Kale ggye lya Yesu,mugolokoke, Mulabe Mukama akulembedde. 2 Tugende mu maaso,ng'abalwanyi be, Tusinge Ssetaani n'amagezi ge. Tukkirize Yesu ye ngabo yaffe N'ekitala kyaffe kye kitabo kye. Kale ggye lya Yesu,mugolokoke, Mulabe Mukama akulembedde. 3 Erinnya lya Yesu bwe liwulirwa, -Abantu ba Ssetaani badduka bonna. Mmwe mugume-emyoyo,abooluganda; Mu Mukama waffe tuliwangula. Kale ggye lya Yesu,mugolokoke, Mulabe Mukama akulembedde. 4 Mubayite bangi bagende naffe, Balyoke babeere abalwanyi be. Kale abooluganda,tugume-emyoyo; Omugabe waffe ye wa maanyi nnyo. Kale ggye lya Yesu,mugolokoke, Mulabe Mukama akulembedde.