Return to Index

220

221

BALWANYI ba Yesu mwesibe-enkola

222
SongInstrumental
	

1 BALWANYI ba Yesu mwesibe-enkola, Mulwane masajja,tuliwangula; Tulina-Omugabe,asinga bonna, Ye Kabaka Yesu-Omukulembeze. Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba; Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya. 2 Bajjajjaffe-ab'edda baalwananga nnyo, Tulwane bannaffe,naye si nga bo; Abalabe baffe,bwe bubi bwonna, N'obulimba bw'ensi; bye tuligoba. Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba; Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya. 3 Tetwetaaga mmandwa oba mayembe, So n'eby'obufumu,tebitugumya; Yesu ye kennyini,atuwa-amaanyi, Kale nno tugume nnyo tuwangule. Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba; Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya. 4 Ayi Kabaka waffe,tuzze-okuwera, Twesibye enkoba ng'abalwanyi bo: Mu lutalo lwonna,lw'otugabyemu, Genda wamu naffe ggwe,tuwangule. Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba; Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.