Return to Index

221

222

MULWANYI wa Yesu olina-ennaku

223
SongInstrumental
	

1 MULWANYI wa Yesu olina-ennaku, Abalabe bangi bakutaayiza, Zuukuka-obakube,oliwangula. Yesu ali naawe,omweyabize. 2 Mulwanyi wa Yesu,laba-emitego, Ssetaani wa maanyi okukusuula; Totya,guma-omwoyo,tolwana wekka, Olina-Omubeezi,-erinnya lye Yesu. 3 Mulwanyi wa Yesu,obawulira, Ebigambo byabwe bikuwoomera? Byonna bya bulimba,tobikkiriza; Obukuusa bwabwe bulirabika. 4 Yesu agamba nti Mbimanyi byonna, Okooye-,olemeddwa,tokyasuubira, Teweekanga n'akamu-,ddamu amaanyi, Mu ggulu entalo zonna ziriggwa.