Return to Index

222

223

MMWE mwenna-abooluganda

224
SongInstrumental
	

1 MMWE mwenna-abooluganda Mubeere n'essanyu; Ensi zijjule-ettendo Ery'omulokozi -Abantu-abatabalika Bamugulumiza; Leero bafunye-eddembe Lwa linnya lye-lyokka. 2 Mmwe mwenna-abooluganda Mulwane n'amaanyi; Eyeeraga-amasajja; Empeera ye nnyingi. Yesu Mugabe waffe, Wa maanyi mangi nnyo: Tufube nnyo bannaffe, Tuwangule leero. 3 Mulokozi,ffe fenna Tweyanze nnyo nnyini; -Okuwangula si kwaffe, Tumaanyi nga kukwo; Wawangula Ssetaani, -Omulabe waffe-oyo; Naffe tetumutyenga, Tujaguze leero