Return to Index

223

224

MWENNA muyimuke

225
SongInstrumental
	

1 MWENNA muyimuke, Ng'abasserikale; Mwambale-eby'okulwanyisa Byonna-ebya Katonda. 2 Mubeere ba maanyi, Mumutunuulire; Ye ge maanyi gaffe gonna, Agatuwanguza. 3 Temutya mulabe, Yesu yawangula; Amaanyi gonna-ag'okufa Tegakyasobola. 4 Mugende mu maaso; Laba ebbendera; Nga yo ebakulembera -Omugabe ye Yesu 5 Mwesibe-amazima, N'obutuukirivu; Nga mutunuulira Yesu, Omukulembeze.