Return to Index

224

225

GGWE kibuga kya Katonda

226
SongInstrumental
	

1 GGWE kibuga kya Katonda Ekitiibwa kyo kingi, Yakukuba,so toyinza Okusimbulwa nate. Emisingi gyo gibeera Ku lwazi lw'emirembe Kuliko bbugwe wa maanyi, Atalumbika babi. 2 Munda laba-emigga mingi Egikulukuta-ennyo, Mwe basena-obutayosa Okunywesa-abaana bo; Ago-amazzi g'obulamu -Agatumalamu-ennyonta, Agagaba ye Katonda; Nga baweereddwa-ekisa! 3 Ababeera mu kibuga Bambala entukuvu; Bayoza engoye zaabwe Mu musaayi gwa Yesu; Bava mu mawanga gonna, Ne bafuuka-abaana be; Edda baali bamwonoona, Kaakano balokole. 4 Ayi Yesu olw'ekisa kyo, Eyo gye ndibeerera; Abantu ab'ensi eno Bannyoome,banduulire; Naye-essanyu lyabwe lyonna Teriyinza kulwawo; Ery'abaana ba Katonda, Lya mirembe-egitaggwaawo-