Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 BATUULA mu ggulu
Wamu naawe
Abatuukirivu;
Basanyuka.
Bayimba bulijjo,
Tweyanze ekisa kyo,
Ggwe-eyatwagala-ennyo,
Mulokozi.
2 -Omusaayi gwa Yesu
Gwanaaza nnyo;
Ebyambalo e'bya-
Batukuvu.
Kyebava batuula
Wamu naawe,Katonda;
Kyebava bayimba
Ettendo lyo.
3 Ani ayagala
-Okutuuka-eyo?
Jjangu Yesu gy'ali;
Yanguwako.
Anaakusonyiwa,
Taaleme kukkiriza,
Nga bwe yasuubiza,
Mukama wo.
4 Tasingika ddala
Ekisa kye:
Alibalokola
Abantu be.
Asangula-ebibi
N'omusaayi-ogw'amaanyi:
Asinga obubi
Taamuleme.