Return to Index

226

227

BULLIJO tutendereza

228
SongInstrumental
	

1 BULLIJO tutendereza Ekibuga kyaffe, Ekyakubibwa mu ggulu, Yesu kye yazimba. Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni 2 Era-ennyumba zaakyo zonna Ziringa nga zaabu; Ze zisinga zonna ddala Ezizimbibwa abantu. Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni 3 Yesu mwali,ye Mukama, Abafuga bonna; Bamalayika beeyanza, Nga bamuweereza. Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni 4 Mu ntebe ye mufuluma -Amazzi g'obulamu Agamasamasa ddala Nga-effeeza-ennungi. Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni 5 Era gy'ali gye gumera -Omuti gw'Obulamu Amalagala kwe gali Agawonya-abantu Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni 6 Ffe tusiime ekibuga Yesu Kristo waffe Kye yatulongoosereza Ekiri mu ggulu. Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni 7 Otuzibule amaaso, Yesu tukulabe; Tubiwulire-ebigambo Bya Mukama waffe. Singa mbadde n'ebiwawa Nga bamalayika, Nandibuuse,nandituuse Eri mu Sayuuni