Return to Index

22

23

KATONDA wange nkwebaza

24
SongInstrumental
	

1 KATONDA wange nkwebaza Olw'ebirungi ebya leero; Era nkusaba onkuume Mu budde bwonna-obw'ekiro. 2 Onsonyiwe ebyonoono Bye nsobezza olwa leero: Ompe-emirembe mu mwoyo, Nga ngenda-okwebaka otulo. 3 -Onjigirizenga bulijo Ekkubo lye naakwatanga: Bwe ntyo bwe ndituusa-okufa Nneme-okutya-entiisa yonna. 4 Mpummulire mu maaso go Mu nzikiza nkweyabiza, Ne ndyoka ngolokoka-enkya Okukuweereza nate.