Return to Index
25 |
26
JJANGU ggwe Omununuzi waffe
|
27 |
Song | Instrumental |
|
|
1 JJANGU ggwe Omununuzi waffe,
Ggwe Emmanueri,Kabaka waffe;
Onunule Abaisirayiri,
Abaakyamira-edda ewala-ennyo.
Tusanyuke! Yesu(O)mulokozi
Alikomawo mu nsi gye tuli.
2 Jjangu,jjangu,Omwana wa Dawudi,
Olokole ffe-abali mu kibi;
Tuwonye mu mikono gy'omubi,
Eyatujooga mu bukuusa bwe.
Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
Alikomawo mu nsi gye tuli
3 Jjangu ggwe Musana-ogusanyusa;
Oyingire mu mitima gyaffe,
Otumalemu ekizikiza
N'ekisiikirize eky'okufa.
Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
Alikomawo mu nsi gye tuli.
4 Jjangu, Omukulembeze waffe,
Tulage-ekkubo-erituuka-ewuwo,
Tuggulirewo tutuuke gy'oli
Otuzibire-ekkubo-ery'okufa.
Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
Alikomawo mu nsi gye tuli.
5 Jjangu,Mukama ow'obuyinza,
Eyawa-abantu bo amateeka,
Mu kitiibwa, mu biseera-eby'edda.
Ng'oyima mu lusozi Sinaayi
Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
Alikomawo mu nsi gye tuli