Return to Index

26

27

MUZUUKUKE! mmwe-abeebase

28
SongInstrumental
	

1 MUZUUKUKE! mmwe-abeebase Omukuumi atukoowoola Suukuka Yerusaalemi Kaakano obudde ttumbi, Abawala ab'amgezi Mujje, batukoowoola nnyo: Awasa-omugole Ajja,muyimuke! Aleruuya! Mujje nga mweteeseteese, Mujje mumusisinkane. 2 Saayuuni yenna-awulidde, Okukoowoola kw'omukuumi; Bonna ne bajjula-essanyu; Mukwano gwabwe-akka ku nsi, Wa kitiibwa-era wa mazima, Wa maanyi era wa kisa. Kale Yesu jjangu -Omwana wa Katonda, Aleruuya! Fenna tusseekimu naawe, Fenna tugende n'essanyu. 3 Ekitiibwa kibe gy'oli; Abantu bakutendereze Wamu ne bamalayika. Fenna tukuyimbirenga Nga twetooloola entebe yo Tujaguze! tujaguze! Tewalabikanga Ssanyu eryenkanaawo Aleruuya! Tukuyimbire n'essanyu Emirembe n'emirembe.