Return to Index

27

28

YESU alijja n'ebire

29
SongInstrumental
	

1 YESU alijja n'ebire Eyafiirira-abanyu; Abatukuvu be bangi Wamu naye bayimba, Aleruuya! Ajja wansi-okufuga. 2 Bonna baliraba Yesu Ng'ali mu kitiibwa kye: N'abo-abaamuyigganya N'abo-abaamufumita Balikaaba, Yesu bw'alirabika. 3 Wansi ne waggulu wonna N'ebirimu biriggwaawo-: Abaamulyamu olukwe Baliwulira Yesu Bw'alisala, Gubasinze,muveewo. 4 Abeegendereza bonna Abamulindirira Balitwalibwa mu bbanga, Balisangayo Yesu. Eyeewayo, Okuleeta-obulamu. 5 Bonna bonna bakusinza Yesu, mu kitiibwa kyo; Jjangu,Mulokozi waffe Olye-Obwakabaka bwo Tukusuute; Jjangu,Mukama waffe.