Return to Index

28

29

MUSANYUKE abalonde

30
SongInstrumental
	

1 MUSANYUKE abalonde Abeesiga Yesu, -Ettabaaza zammwe zaake, Obudde buzibye. Mukama waffe alijja, Kaakano ali kumpi, Muyimuke mwekuume Meleme-okwebaka 2 Mukoleeze-ettabaaza zaake mu nzikiza, Mulabe-obulokozi Bwammwe busembedde. Mukama bamulengera Kaakano ali kumpi, Mugende nga muyimba, -Okumusisinkana. 3 -Abawala ab'amagezi Muyimbe nnyo nnyini Ennyimba-ez'amatendo -Ez'abamalayika. Yesu atulindirira Mulokozi w'abantu: Balokole ba Yesu, Musembere mwenna. 4 Tukkiriza ggwe Yesu Mulokozi waffe, Yanguwa-okujja,olye Obwakabaka bwo. Katonda atubeerenga -Okubuuliranga wonna, Balokoke bonna.