263 |
264AYI Yesu Mukama |
265 |
Song | Instrumental |
1 AYI Yesu Mukama, Onsonyiwe-ebibi, Omponye-okwegomba kw'ensi: Mbeere mulongonfu. 2 Ayi Yesu Mukama, Ommalemu okutya, Mbeere omuddu wo-akwagala, Ndyoke ntuuke gy'oli. 3 Ayi Yesu Mukama, Tomganya kuwaba; Mu nzikiza nga ssiraba; Mulisa-ekkubo lyo. 4 Ayi Yesu Mukama, Ntuusa mu ssanyu lyo; Mbeerenga eyo mu ggulu, Emirembe gyonna.