Return to Index

284

285

GGWE-omanyi Yesu obukoowu bwaffe

286
SongInstrumental
	

1 GGWE-omanyi Yesu obukoowu bwaffe, Otegedde byonna-ebikwekeddwa; Tukemggentereddwa-abalabe bangi, Ggwe wekka-,oli kiddukiro kyaffe Tuzze gy'oli,oyise ffe-abanaku Kubanga-ebyama byonna-obimanyi. 2 Ggwe-omanyi ebibi byaffe-ebyabaawo Bwe twakujeemera,bwe twabula; Twawaba nnyo ng'endiga-ezisaasaana, Twali tuzaaye n'otuzaawula. Ggwe-eyanyiga-ebiwundu byaffe byonna N'otuwa-amaanyi,otusaasire. 3 Ggwe-omanyi byonna-,ebiriwo kaakano -Omulabe waffe bw'atukema-ennyo Entalo ze tulwana zituyinze, Twetaaga ggwe,-ekiddukiro kyaffe. Be twagala nabo banakuwala, N'ensi-eno-oluusi tetusanyusa. 4 Ggwe-omanyi byonna-,ebigenda-okubaawo, Oluusi ssanyu,oluusi nnaku; tunoonya bye tutayinza kufuna, Naye gy'oli tujjula essanyu, Obudde bw'obulamu buwungeera Era-okufa kutusemberera Era-okufa kutusemberera. 5 Kyovudde-omanya byonna-ebituluma, Kubanga watwala-obuntu bwaffe, Mu nsi baakuyitanga ow'ennaku, Era-eyamanyiira-obuyinike. Kyetuvudde twanmgganga-okujja gy'oli, Tufune amaanyi ge twetaaga.