Return to Index

286

287

EKITIIBWA kyo kinene

288
SongInstrumental
	

1 EKITIIBWA kyo kinene, -Omununuzi waffe; Emimwa gy'abantu bonna Giyimba-ettendo lyo! 2 Erinnya lya Yesu ddungi Limalawo-okutya; Lituleetera-obulamu N'emirembe mu nda. 3 Amaanyi g'ekibi gonna Yesu yagamenya; Ffe abaali abasibe Twafuuka ba ddembe! 4 Buli akkiriza Yesu Alirokolebwa; N'abo abaafiira mu ye Kaakano balamu! 5 Muwulire mmwe-abanaku Nammwe bakasiru, Bwe munaasembera gy'ali Munaawonyezebwa! 6 Mukama waffe-ow'ekisa Tukwegayirira, Otuyigirize fenna Okukusuutanga.