Return to Index

287

288

ABAALUMWA-emisota-Abayisirayiri

289
SongInstrumental
	

1 ABAALUMWA-emisota-Abayisirayiri. Mu lukoola bwe baatambula; Buli muntu yawona eyatunnuulira Omusota ogwo ku muti. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 2 Temulwa,mumutunuulire Mulokozi, Mmwe mwenna abalumwa-ebibi: Munaawona mwenna bwe mukkiriza Yesu, Eyatufiirira ku muti. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 3 Naye ku lw'ebikolwa ebituukirivu, Temuyinza kulokolebwa: Abisiima Katonda,naye tebiyinza Kutuggyako-omusango gwaffe. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 4 Naye ku lw'okufa kwe ku muti ku lwaffe Tulibera-abalamu mu ye; Tulisanyuka bwe tusonyiyibwa-ebibi, Ne tutuuka mu ggulu fenna. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna.