Return to Index

288

289

YESU yajja alokole

290
SongInstrumental
	

1 YESU yajja alokole Abalina-ebibi: Naffe fenna aboonoonyi Anaatusonyiwa. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw'okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 2 Tegwatuyiikira-omusaayi- Ogusinga byonna? Tewali gw'atayinza ye Okulongoosa-ennyo. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw'okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 3 Tetuyinza ffe-okwetuusa Mu ggulu n'akamu: Mu kifo-ekyo mulituuka Abatuukirivu. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw'okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 4 Naye bwe tumukkiriza Katonda Kitaffe Atulaba ng'abalina Obutuukirivu. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw'okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 5 Mukale mumukkirize Muweebwe-obulamu: Kubanga Yesu tagoba Mu maaso ge n'omu. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw'okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose.